@blackmedia788: Bbeeyi y'amafuta mu ggwanga kitegeerekese nti ejja kusigala eri waggulu newankubadde wo ku katale k'ensi yonna yakendedde.Bino byonna byavudde ku ndagaano ey'emirembe eyatuukiddwako wakati wa America ne Iran era mbagirawo bbeeyi ya ggalani y'amafuta n'etuuka ku ddoola 83.Kyokka ekyewuunyisa bbeeyi y'amafuta yyo yakwongera okulinnya olw'omusolo ogwanyogeddwako.